Matthew 7:26-27

26Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”

Copyright information for LugEEEE